President w’ekibiina kya NUP Robert Kayagulanyi Ssentamu agamba nti ababuzaawo abakuumi be bazannya bya bufuzi n’ebigenderera eby’okubanafuya.
Kyagulanyi okwogera bino kivudde ku bitongole by’eby’okwerinda omuli Police ne SFC okwegaana nti ssi bebalina omukuumi we, ayitibwa Eddie Mutwe.
Mu lukuηaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule nategeeza nti ebitongole bye byokwerinda bwebiba nga si byebyabuzizaawo omuntu wabwe government erina okunoonyereza ku kabinja akayinza okuba nga kekabuzaawo abantu.
Agambye nti bannamateeka ba NUP bakola ku mpapula zebatwala mu kooti, nga bagala eragire ab’ebitongole by’okwerinda byebagamba nti byebikuumidde Eddie Mutwe mu kadduukulu okusukka essaawa 48 awatali kuwozesebwa.
Kigambibwa nti Eddie Mutwe yawambibwa abantu abaali mu ngoye za bulijjo mu bitundu by’e Mukono.
Kyagulanyi agambye nti bakimanyi bulungi nti ebikolwa bino,bigenderedemu kubanafuya naye tebagenda kunafuwa,wadde okuva ku mulamwa.
Kyagulanyi mu ngeri yeemu avumiridde eky’abakuuma ddembe okulemesa nga enkuηaana zabwe ku kitebe kyabwe, naategeeza nti batandiise okwogerezeganya ne bannamateeka babwe balabe engeri gyebayinza okumalawo ekyokulemesa abakuuma ddembe okulumbanga ekitebe kyabwe.