Olukiiko olufuzi olw’ekibiina kya NUP lulonze Omubaka wa Jinja South East Paul Mwiru okwebasimbawo avuganye ku ntebe ya sipiika wa parliament ey’omulundi ogwe 12.
Akolanga omukulembeze w’ekibiina kya NUP Lina Zedriga,ssabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya ,JohnBaptist Nambeshe ne Joel Ssenyonyi beebaanjudde omubaka Paul Mwiru, oluvanyuma lw’ensisinkano ebaddewo ,wakati w’abakulembeze ba NUP n’ababaka abalonde ab’e kibiina kino.
Paul Mwiru agambye nti mwetegefu okukyuusa ekifananyi kya Palamenti singa babaka bane banamuteekamu obwesige.
Bino webigyidde nga waliwo ebigambibwa nti NRM nayo agenda kusimbawo omubaka wa West Budama Jacob Oboth Oboth ku bwa sipiika bwa parliament eye 12.
Omubaka Laloo Pece Nobert Mao naye akyakalambidde ekifo akyagala.
Bino webigyidde ng’abadde sipiika eye 11 Annet Anitah Among akyanoonyerezebwako ku by’okwenyigira mu bulyake n’obukenuzi, era nga yalangiridde nti olwokaano aluvuddemu.
Omwogezi w’ekibiina kya NUP Joel Ssenyonyi agambye nti ku ebigenda mu maaso ku abadde sipiika Annet Anita Among kisaanye kikolebwe ne ku ofiisi endala ez’abakulu mu government, olwo eggwanga litegeere nti government ya NRM emaliridde okulwanyisa enguzi.












