Banna kibiina kya National Unity Platform e Bwaise bakubagenye nebanna kibiina kya NRM,lwakutegeka kivulu ate nga police yabigaanye.
Police eyiiriddwa mu bungi mu kifo kino banna NRM webategese ekivulu kino, wabula nga telina gwekuteke wadde okugambako ekiggye aba NUP mu mbeera nebatadika okulwanagana naba NRM nga balumiriza police okulaga oludda.
Oluvanyuma Police evude mu kifo kion awabadde wategekedwa endongo olwo abavubukka nebatandiika okukubagana nga bagamba nti Police engeri gyelese aba Nrm okuyisa ebivulu byeyagaana bo kababekolereko.
.
Francis Ssemakadde ssentebe wábagoba ba Taxi e Bwaise yakulembedemu okutegeka emikolo agambye nti bo bakikoze lwabwagazi eri president waabwe Yoweri ibuhaburwa Kaguta Museveni.
Wadde nga abavubuka bano bakubaganye ebikonde naye tekibalobedde kugenda maaso ne kivulu kyabwe mu maaso.