Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kittavvu ky’ensimbi z’abakozi ekya National Social Security Fund (NSSF), kirangiridde nti kituuse ku buzito bwa Trillion 20, wadde ng’ekiruubirirwa kino kyaku kisuubirwa kutuukibwako mu mwaka ogujja ogwa 2025.
Mu mwaka gwa 2015, abaddukanya NSSF baali beewa ekiseera kya myaka 10, okutuuka mu mwaka gwa 2025, okuba nga batuuse ku buzito bwa ssente trillion 25, wabula ekitongole kigamba nti obujjumbize n’okunyonyola abantu entegeka z’ekitogole kibayambyeko okutuuka ku kiruubirirwa kino mu bwangu ddala.
Mu ngeri yeemu mu nnambika ya NSSF eyemyaka 10 eya 2015, abakulu bakkaanya okwongera okutumbula business z’abantu, okubasobozesa okufuuka ba memba ba NSSF era nti nakyo baakakituuko ebitundu 95%.
Okusinziira ku alipoota ya NSSF, ekittavvu kaakano kizitowa shs Trillion 20 n’obuwumbi 18.
Ssenkulu wa NSSF Patrick Ayota agamba kino kibasobozesezza n’okusasula abamu ku bantu ababeera bawezezza emyaka 45 egy’obukulu abaali beetaaga okufuna ekitundu ku nsimbi zabwe mu nkola eya Mid Term Access, era nti kati abantu ssente bazifuna mu nnaku 7, okuva ku nnaku 11 kwebazifuniranga.