Nnabagereka Sylvia Naginda, alabudde abakyala ba Mothers Union, okuddamu okwekennenya enkuza y’abaana mu ggwanga, era naabasaba okukwatagana n’abakyala abalala, wamu n’abavubuka mu bitundu eby’enjawulo, okukuuma abaana n’okubakuliza mu mpisa.
Nnabagereka Naginda bino abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu n’abakyala abakulisitaayo mu kibiina kya Mother’s Union Buganda ebadde mu Bulange- Mengo.
Mwatongolezza enteekateeka eyokukwasizaako abakyala abali mu bufumbo, abaana, nabawala abateekateeka okufumbirwa.
Nnabagereka era yekokkodde abafumbo abekwasa nti tebalina budde bumala kulabirira maka,kyagambyenti kyabulabe.
Minister avunanyizibwa ku bakyala, ekikula ky’abantu, eby’enjigiriza, eby’obulamu ne wofiisiya Nnabagereka, Owek Dr Prosperous Nankindu Kavuma, asabye abakyala ba mother’s Union, okwongera okukwasizaako abakyala mu bufumbo n’okukuuma emirembe mu maka n’ eby’obulamu byabwe.
Asabye abakyala okufaayo ennyo ku baami baabwe n’okwewala okubatulugunya,mu kawefube w’okukendeeza obutabanguko mu maka.
President w’abakyala abakulisitaayo abafumbo mu kibiina kya Mother’s Union Buganda, Josephine Kasaato, agambye nti essira lyabwe omwaka guno ly’akuteekebwa ku kugunjula abakyala mu bufumbo nabateekateeka okubuyingira.
Olukiiko luno olwa Mother’s Union Buganda, lutaba abakyala abafumbo mu bulabirizi 6 mu kkanisa ya Uganda, era lutuulibwako n’abakyala baabalabirizi mubulabirizi buno okuli owe Mityana, Mukono, Luweero, Namirembe, West Buganda,Central Buganda, ne Kampala.