Obwakabaka bwa Buganda busaasidde nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’Okuvibwaako mwannyina Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe eyavudde mu Bulamu bwensi eno ku myaka 80.
Bwabadde yeetabye ku mukolo gw’Okutereka Nnaalinnya mu Lubiri lwe Namasanga mu Busiro, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Olulyo Olulangira lufiiriddwa Omuntu abadde alukiikirira Obulungi mu Bwakabaka, ate nga abadde Muteesa Mulungi ku nsonga z’Obwakabaka n’Okwagala Kabaka.

Katikkiro mungeri eyenjawulo yebazizza nnyo Olulyo Olulangira omuli Abalangira n’Abambejja okukyuusa ekifaananyi ky’Olulyo nebatandika okukola obutaweera, ekiwadde abantu ba Kabaka essomo okwongera okukola ennyo.
Minister Omubeezi owa tekinologiya Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo nga yeyeetisse Obubaka bw’Omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni, yebazizza Nnaalinnya olweebyo byaakoledde Obwakabaka ,naddala mu lutalo olwabuzzaawo,era awaddeyo amabugo ba Bukadde 20.

Ssabadinkoni we Nateete Venerable Canon Godfrey BK Buwembo nga yakulembeddemu okusaba okw’Okutereka Nnaalinnya Gartrude Tebattagwaabwe,yeebazizza Omugenzi olw’Okwaagala ennyo Obulamubwe, Okumanya Obukulu bw’Olulyo Olulangira,n’Okwagala ennyo Kabakawe.
Omulangira David Namugala ku lw’enju y’Omulangira George William Mawanda, yebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwokwagala ennyo mwannyina, n’Okumuwagira mu ngeri ezenjawulo.

Abazzukulu nga bakulembeddwamu Catherine Namayanja wamu n’Abaana abakulembeddwaamu James Ssempala, bebazizza Nyaabwe ate Jjajja Olw’omukwano gwabalaze, n’Okubakuliza mu Mpisa.
Omukolo gw’Okutereka Nnaalinnya gwetabiddwaako Abalangira n’Abambejja,Katikkiro eyawummula Owek JB Walusimbi, ba minister b’Obwakabaka ,ababaka mu Lukiiko lw’Eggwanga Olukulu,abakungu mu Bwakabaka n’abakungubazi abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis