Abakulembeze b’Obwakabaka ku mitendera egyenjawulo banjudde emiramwa egigenda okutambulizibwako Namutayiika addako ow’emyaka etaano, 2023-2028.
Omulamwa ogusoose gugenda kuba gwa kutaasa ,okukuuma n’okukulaakulanya eby’Obuwangwa n’Ennono, Obukulembeze n’Ebyobugagga bya Buganda, nga omulamwa guno gugendereddwamu okunyweeza obumu mu Bantu ba Buganda.
Omulamwa ogwokubiri gugenda kubeera gwa kusitula embeera z’Abantu ba Buganda ebyenfuna n’enkulaakulana, nga kino kigendereddwaamu okugoba olunnabe lw’obwavu mu Buganda.
Omulamwa ogwokusatu gugenda kubeera ku bwetengereze obw’olutentezi mu byenfuna mu Bwakabaka, n’ekigendererwa ekyokusitula embeera z’abantu ba Buganda mu byalo ne mu bibuga.
Emiramwa gino gyanjuddwa mu lusirika lwabakulembeze b’Obwakabaka oluwezezza ennaku bbiri nga luyindira mu Butikkiro e Mengo.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiri era Omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa yayanjudde emiramwa gino, n’agamba nti buli kikolebwa mu Bwakabaka kigendereddwamu kubutuusa ku Ntikko , naasaba abakulembeze okubeera abavumu ku kunyweza ensonga ssemasonga ettaano Buganda kwekyasibidde olukoba.
Olusirika luno lwetabyemu ba minister, ab’amasaza, ba jajja abataka ab’obusolya, n’abakulira ebitongole.
Bisakiddwa: Kato Denis