Abaddukanya kampuni y’ennyonyi y’eggwanga Uganda Airlines baanukudde ku kikolwa ky’omu ku basaabaze ayakwatiddwa ku katambi ng’atembeeya enseenene mu nnyonyi!
Abakulu mu Uganda Airlines baliko ekiwandiiko kyebafulumizza nga bavumirira ekikolwa ky’okutunda enseenene zebagamba nti zaabadde tezituukana namutindo basaabaze baabwe gwebeetaaga.
Wabula newankubadde bavumiridde ekikolwa kino, bategeezezza nti kibazibudde amaaso nti abasaabaze enseenene bazeetaaga.
Mu mbeera eno basuubizza okussa enseenene ku by’okulya byebagabula abasaabaze baabwe ku nnyonyi.
Bino webijjidde nga tukitegeddeko nti minister w’ebyentambula Edward Katumba Wamala alagidde abakozi bonna abaabadde ku nnyonyi mu kiseera omusaabaze weyafuukidde omutembeeyi w’ensene bawummuzibwemu ku mulimu olw’obulagajjavu.
Enseenene byebimu ku biwuka ebiwoomera ennyo bannauganda n’abamawanga amalala okwetooloola ensi kyokka ku mulundi guno zigudde kikeerezi ng’abazirabako balaba ku ndabakuki!