Nabbambula w’omuliro akutte ekisulo ky’abayizi ku ssomero lya St Thereza Girls Primary school e Kisubi Ntebe, gusaanyizaawo ebintu by’abayizi.
Kigambibwa nti omuliro guno guvudde ku laddu ekubye ekizimbe mu nkuba ekedde okutonnya, nekikwata omuliro.
Abakulira essomero tebakkiriza bantu kuyingira mu ssomero, wabula nga bategeezezza nti tewali muyizi ayokeddwa muliro, nti kubanga bonna baabadde baagenze mu bibiina.
Police y’abazinnya mwoto etuuse ku ssomero wabula esanze ekizimbe kiweddewo.
Bisakiddwa: Kakooza George William