Obukadde bwa shilling za Uganda 22,350,000/= bwebusondeddwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka abatandisi b’amasomero wamu n’abasuubuzi b’emmwanyi abavudde mu masaza okuli Busiro, Gomba ne Bugerere mu nkola eya Luwalo Lwange.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga y’abatikudde oluwalo luno, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Alabudde abazadde abeesibye mu kutegekera abaana eby’Obugagga nebatabateekateeka, nti bano bebagenda okufuukira Uganda ekizibu.
Abasabye okwagazisa abaana omulimu gw’obulimi, nti kubanga nagwo mulimu oguvaamu ensimbi ezegasa era abantu nebabeera bulungi.
Owomumbuga asabye ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’emmwanyi mu ggwanga ki Uganda Coffee Development Authority, obutakoowa kulungamya balimi ba Mmwanyi ku nyanika yaazo ezikuumira ku mutindo, mu kifo ky’Okubowa emmwanyi zabwe nekibafiiriza.
Minister omubeezi owa government ez’ebitundu mu Bwakabaka Owek Joseph Kawuki, yebazizza abazadde abasobodde okwagazisa abaana abato ebyobulimi,byagambye nti byankizo nnyo mu nkulaakulana y’Obwakabaka ne Uganda yonna.
Ssentebe w’abasuubuzi b’emwaanyi mu Gomba ne Butambala Zaidi Kabiito, asabye ab’Obuyinza mu Gomba ne Butambala okukola ku bibasomooza, omuli obubbi bw’ebirime obusukkiridde.
Agambye nti abantu bangi babadde bafubye okulima emmwanyi n’ebirime ebirala ebivaamu ensimbi n’rmmere ey’okulya, wabula ba mulyannimire basukkiridde okubibba ku misiri.
Abamu ku bakulira amasomero ageetabye mu Luwalo lwange , beebazizza Obwakkabaka okuwa abayizi omwagaanya okweetaba mu ntekateeka eno, eyambye abayizi okumanya ebikwata ku Bwakabaka n’emirimu egikolebwamu.
Omumyuka asooka owa Mugerere Patrick Mugerwa yebazizza Obwakabaka olw’enteekateeka y’okuwa abalimisa pikipiki ezibayambye okutuuka ku balimi n’okubalambika ku nnima esaanidde.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: Naluyange Kellen