Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde abalungamya b’okumikolo bulijjo okwemanyiiza n’okwagala okwezza obuggya nga beetaba mu misomo egitegekebwa okubabangula mu nkola y’omulimu gwabwe.
Obubaka abutisse minister w’amawulire, okukunga abantu ba Kabaka era omwogezi wa Buganda Owek. Israel Kazibwe mu kuggalawo ssemasomo w’abalungamya b’emikolo amaze ennaku 2 ng’ayindira ku Buganda Royal Institute of business and technical Education Mengo Kakeeka.
Katikkiro agambye nti okwetaba mu misomo gy’okwezza obuggya kyogiwaza obwongo n’okutambula n’omulembe.
Katikkiro abasabye okumanya omulamwa gwabwe naddala ogw’okusomesa abantu obukulu n’amakulu g’obufumbo n’amaka mu Buganda omuli n’okulwanyisa ebitajja nsa ku mikolo.
Ku lulwe, Owek Kazibwe asabye abalungamya okubeera eddoboozi lya Buganda mu bantu ba Kabaka nga babatuusaako amawulire agafa embuga n’okwenyigira mu nteekateeka zonna eza Buganda omuli n’okwetaba mu nkola eya Luwalo lwange.
Akulira eby’ensoma ku Buganda Royal Institute of Business and Technical Education Kakeeka Mmengo, Ssaalongo Apollo Kaggwa yeebazizza abalungamya b’emikolo olw’okuba abasaale okukuumira obuwangwa n’olulimi Oluganda ku ntikko.
Ssaalongo Kaggwa agambye nti tewali nsi na ggwanga biyinza kukula ng’obuwangwa bwabyo busigalidde mabega.
Ssentebe w’abalungamya b’okumikolo mu ggwanga Ismail Kajja, yeebazizza minister w’obuwangwa n’ennono Owek Dr. Anthony Wamala era akulira Buganda Royal Institute olwokubakkiriza nebategekerawo ssemasomo ow’omulundi guno n’okubayamba okuwa abeetabyemu empapula ezibakakasa nti ddala babanguddwa (Certificates) okuva mu kitongole kya DIT.
Ssemasomo season ey’okubiri yeetabyemu abalungamya 110 okuva mu masaza ag’enjawulo nga babadde babangulwa abasomesa okuli; Jjajja mwami Ssonko Kavi, Omulangira Mukasa Nnabe, Ssenga Joyce Nalujja okuva mu kibiina kya Olulimi Oluganda, Ismail Kajja Ssentebe, Ssaalongo Dr. Abbey Kabanda omuzira mu bazira wa CBS,ne Omulangira Kayemba Kayiraani naye omuzira mu bazira.
Ababanguddwa baweereddwa Endaga mwogezi okuva mu kitongole kya Buganda ekya Majestic Brands, olukusa (Permit) ebibakkiriza n’okubalaga nti batuufu era baayisiddwa mu mitendera gyonna egy’okulungamya emikolo gy’ennono ya Buganda naddala okwanjula.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K