Ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF, kironze ddifiri munnayuganda Shamirah Nabadda, okulamula mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2025 ezabazannyi abatasussa myaka 20 egy’obukulu.
Empaka za Africa Cup of Nations U20 zigenda kuberawo okuva nga 27 omwezi ogwa April okutuuka nga 18 May,2025.
Shamirah Nabadda yoomu ku baddifiri 14 abagenda okubeera mu kisaawe wakati, era ono alamuddeko mu mpaka ezenjawulo ez’omuzinzi.
Empaka zino mu kusooka zaali zaukutegekebwa Misiri, kyokka yabiggyamu enta olw’ebbula ly’ensimbi n’ensonga endala.
Ekitundu kya East Africa kigenda kukiikirirwa ensi 2 Tanzania ne Kenya, era Uganda siyakuvuganya mu mpaka zino olw’okulemererwa okuyita mu kasengejja.
Ekibinja A mulimu Central African Republic, Dr Congo, Ghana ne Tanzania, ekibinja B mulimu Nigeria, abategesi aba Misiri, South Africa ne Morocco.
Ekibinja C mulimu Senegal, Zambia, Kenya ne Sierra Leone, era Ivory Coast siyakuvuganya mu mpaka zino kuba ebadde yakiika nga omutegesi.
Nigeria yekyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi 07, ate Senegal be bannantamegwa b’empaka ezasembayo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe