Police mu district e Masindi eggalidde omukyala Namwandu w’abadde akulira ebyobulamu mu district ye Masindi Dr. Abiriga Jino, nga eyagala abeeko byannyonnyola kunfa ya bba.
Omukwate ye Cherotich Betty ow’emyaka 31, kiteeberezebwa nti alina akakwate ku nfa ya bba eyatemuddwa, oluvannyuma omulambogwe negusuulibwa mita eziwerako okuva ku makaage.
Okunoonyereza okwakakolwawo kulaze nti mu kisenge ababiri bano mwebabadde basula musangiddwamu omusaayi ogwasammuse ku kisenge ne wansi w’ekitanda.
Omwogezi wa police mu ggwnaga Fred Enanga , ategeezezza nti ebyogerwa Namwandu ku musaayi ogunoonyerezebwako tebikwatagana bulungi, nga bino byonna byakuyambako police mu kunoonyereza kweriko.
Abantu bana bebaakakwatibwa okwongera okuyambako mu kunoonyereza ku ttemu eryakolebwa ku Dr.Jino Abiriga.#