Munna kibiina kya ANT era nga yakikwatidde bendera kuntebe y’obwa Presidenti Gen Mugisha Muntu alajanidde omukulembeze we ggwanga agye amagye ga UPDF ku Nyanja, nti kubanga gafuukidde banansi ekizibu.
Mugisha muntu ali mu bitundu bye Teso nga ayogerako nebanna mawulire ku bizibu ebiri mu bantu gyatandikidde olwaleero, agambye nti abantu bekokola obukambwe bwabanamagye nga newebaali bagya ekyookulya bakibajako da.
Mugisha muntu awanjagidde omukulembeze we ggwanga ayambeko abantu abawangaalira ku Lake Kyoga nti kubanga abakuuma ddemba aba UPDF tebatekeddwa kubeera mubantu balina kuvaayo mu biseera byantalo.
Muntu agambye nti olukwata obuyinza amagye agazaayo mu nkambi gyegateekedwa okubeera atendeke police yeeba enakuuma enyanja.
Mugisha muntu mu bitundu bino ebya Teso ali Kalaki ,Amuria ne Kapelebyong