Mufti wa Uganda sheik Shaban Ramadan Mubajje akangudde ku doboozi ku buli bwenguzi obutandise okweyolekera mu kukola Hija ,nga agamba nti abantu abatwala abantu ku Hija kati basuubuzi bavudde ku mpagi z’obusiramu.
Mufti agambye nti mu kukola Hija y’omwaka guno 2024,emivuyo mingi egyakoleddwa era n’ategeeza nti bagenda kubaga etteeka eriziyiza Hija okufuuka omulimu gw’obusuubuzi.
Mufti abyogedde asisinkanye abakulembeze b’obusiramu mu district zonna mu ggwanga nekigendererwa ekyokutereeza ,amakubo abantu mwebayita okukola Hijja.
Agambye nti baafunye n’amawulire nti waliwo abasiraamu abaakoledde efujjo ku mikolo gy’okukola Hijja mu nsi entukuvu e Mecca, nti bino tebagala kuddamu kubiraba ng’abakulembeze b’obusiraamu
Omumyuka wa Mufti wa Uganda sheik Muhammad Ali Waiswa alabudde abasiramu abakyalwanagana nti entalo bazikomye nga agamba nti zigootanyizza nyo enzikiriza yabwe
Bisakiddwa: Lukenge Sharif