Empaka zókunoonya Nnalulungi wa Buganda owébyóbulambuzi 2023 zitongozeddwa.
Emikolo gibadde mu Bulange e Mengo.
Empaka zómwaka guno akutambulira ku mulamwa ogwókusimba emiti n’okuzzaawo obutonde bwénsi Greening Turism
Minister wa Buganda owóbulambuzi Owek. Kiwalabye Male yatongozza empaka zino.
Empaka zóbwannalulungi bwóbulambuzi mu Buganda zigenda kutandikira mu masaza era buli ssaza lyakuvaamu bannalulungi basatu abanaavuganya era bateekeddwa buli omu okubeera ngálina ekika mwava.
Omukubiriza wólukiiko lwábataka omutaka wékika kyékkobe Augustine Mutumba asabye abategesi okutambuliza empaka zino ku nnono baleme kukopperera by’e bweru.
Nalulungi wa Buganda ne Uganda yonna owóbulambuzi 2022 Nabulya Sydney Kavuma yebazizza Ssaabasajja Kabaka okubawa omukisa ngábaana abawala okulaga obusobozi bwabwe eri ensi yonna.