Government eyimirizza mbagirawo amasomero gonna okwetoloola eggwanga, obutaddamu kutwala bayizi mu kulambula okwengeri zonna okutuusa nga bamaze okuddamu okulambikibwa.
Minisiter w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Owek. Dr. JC Muyingo y’ayisizza ekiragiro kino era kitandikiddewo okukola.
Abayizi abawerako bakoseddwa mu bubenje obuzze bugwawo ng’abayizi bagenda okulambula, era ng’obubiri obwakasembayo kwekuli aka Bus eyali etwala abayizi okulambula e Jinja, eggaali y’omukka negitomera omusomesa naafiiramu, saako okulumya abayizi.
Waliwo naakabenje akalala akafiiriddemu abayizi b’essomero lya King David Junior school e Ndejje, abasoba mu 20 bafudde wamu ne nnyini ssomero, babadde bava ku biyiriro bya Sipi e Kapchorwa.
Government era eriko obukwakkulizo obulala obuyisiddwa eri abagoba b’emmotoka ez’olukale.
Obukwakkulizo buno bulangiriddwa minister w’amawulire nokuluηamya eggwanga Justine Kasule Lumumba, Minister w’ebyenjigiriza ow’ekiseera Dr.JC Muyingo, minister omubeezi ow’ebyentambula Julius Maganda ne minister omubeezi ow’abaana n’abavubuka Mercy Faith Lakisa, oluvanyuma lw’ensisinkano eyetabiddwamu ebitongole bya government ebikwatibwako ensonga z’amassomero, ebyentambula n’endala
Minister Dr. John Crysostom Muyingo alagidde amassomero gonna agabadde gatutte abayizi ku ngendo empanvu okulambula, emmotoka ezo omutambulidde abayizi bazivuge bazitwale ku police eziriraanye gyebagenze okulambula, olwo police zikole ku nteekateeka ez’okuwerekera emmotoka ezo, okuzizaayo ku massomero gyezaggye abayizi.
Gavument era eragidde emmotoka zonna ez’olukale ezisaabaza abantu, okusooka okufuna olukusa lwa ministry y’ebyentambula n’enguudo.
Minister omubeezi ow’enyentambula Julius Maganda agambye nti emmotoka zonna ezisaabaza abantu ba buljjo n’abayizi b’amassomero nga tezinaba kusaabaza bayizi, zirina okusooka okwekebejjebwa ministry y’ebyentambula.
Emmotoka eziri mu bitundu ebyesudde ebbanga okuva mu kibuga Kampala, emmotoka ezo zakwekebejjebwa police yebidduka mu bitundu ebyo oba inspectorate of vehicles era ziweebwa certificate eziraga nti zisaanidde okwettika n’okusaabaza abantu.
Minister Maganda agambye nti government etandiise ku nkatekateeka efanaananako nensi endala ,emmotoka zonna ezitambuza abayizi b’amassomero okuzisiiga langi eyakyenvu okuzaawula ku mmotoka endala, kisobozese ab’ebyokwerinda ku makubo okukwasisa obukwakulizo buno.
Minister w’amawulire n’okuluηamya eggwanga Justine Kasule Lumumba agambye nti government etaddewo akakiiko akenjawulo, okulaba nti obukwakulizo obuteereddwawo buteekebwa mu nkola ewatali muzannyo.
Obukwakulizo buno butandiikiddewo okukola.
Government yeyamye okukwaatirako family z’abaana b’essoero lya King David Junior School Ndejje, naabo abafiiriddwa abaabwe government yakubayambako mu byokuziiika nookubabudaabuda.#