Ekitongole ky’Ensi yonna ekirwanirira, okutaasa n’okukuuma obutonde bw’ensi ki United Nations Environment Programme, kisiimye Obwakabaka bwa Buganda olw’okutegeka omukolo gw’okukuza n’okwefumiitiriza ku butonde bw’ensi.
Olunaku luno lwakuzibwa nga 12 Junr,2026 mu ku ssomero lya Mother Kevin College School Mabira mu Kyaggwe
Omulamwa gw’olunaku gugamba nti “Twongere omutindo mu kukuuma obutondebwensi kulw’enkyukakyuka y’obudde ne kulw’embeera zaffe”, era Katikkiro yakiikirirwa omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule.
Abaana b’amasomero baayolesa bye bakola okutaasa n’okukuuma obutondr bw’ensi.
Essomero lya Morher Kevin School Mabira, ewaali emikolo lulunda ebyennyanja, saako okulundira awafunda ekiwadde omukisa abayizi okuyiga engeri y’okukuuma obutonde.
Bino bye bimu ku byaviiriddeko Ekitogole ky’amawanga emagatte ki Unuted Nations Environment Programme Okusiima Obwakabaka.
Owek.Mariam Mayanja ye minister w’Obwakabaka avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi.#











