President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni aliko ba engineer abalala 6 baawumuzza ku mirimu okuva mu ministry y’ebyentambula n’enguudo ng’entabwe eva ku bigambibwa nti benyigira mu mivuyo gy’okukola enguudo eziwerako mu ggwanga omuli olwa Busega-Mpigi express way, Mityana- Mubende road, fortpartal nendala ezitutte ebbanga nga teziggwa.
Bano begasse ku bakozi abalala 4 abaasooka okuyimirizibwa omukulembeze w’eggwanga, okwali omuteesiteesi omukulu mu minisitule eno Waiswa Bageya, ba engineer basatu okuli Edwin Raymond Kiyaga, Dickens Ahimbisibwe ne Patrick Muleme, nga bonna bateeberezebwa okwenyigira mu mivuyo ekiviiriddeko oluguudo lwa Busega-Mpigi express way okukolebwa akasoobo.
Minister w’ebyentambula Fred Byamukama bwabadde alabiseeko eri akakiiko ka parliament akeby’obuzimbi okuttaanya ku nsonga ezikyalemesezza enguudo ezisoba mu makumi 20 okuggwa, ategeezeza akakiiko kano nti minisitule gyakulembera ejjudde namujinga eyetaaga okujanjaba mu bwangu, era nategeeza nti president Museveni amuweerezza ebbaluwa emulagira okugoba ba engineer abalala 6 olwokwenyigira mu mivuyo gy’okukola enguudo z’eggwanga.
Akakiiko kano kakizudde nti enguudo ezisoba mu 23 zezikyakandaaliridde okuggwa kyokka nga ensimbi ezisinga government yeewola neewole.
Agambye nti ensimbi ezeewolebwa ezimu zaatandika dda okuzisasulirako amagoba, okugeza
African Development Bank yawola government ya Uganda obuwumbi 600 okukola oluguudo lwa Busega-Mpigi Express way, ensimbi nezituuka nokugwawo okusasulwa kyokka ng’oluguudo luno lwakakolebwako ebitundu 47% zokka.
Wano Ababaka abatuula ku kakiiko kano okuli ssentebe wa kakiiko kano Mwine Mpaka, omubaka omukyala owa district ye Gomba Sylivia Nayebale, ne Alex Seruganda Niyonsaba owa Bufumbira South batadde ku nninga abakulu okuva mu ministry y’ebyenguudo okunyonyola ekyavaako ensimbi ez’okukola oluguudo lwa Busega-Mpigi Express Way okulinnya okuva ku buwumbi 680bn okutuuka ku trillion 1 n’obuwumbi obusoba mu 200.
Minister Byamukama ategeezezza nti design y’oluguudo luno yakyusibwa ekyaleetera ensimbi zino okweyongera, okuva ku buwumbi 600 okutuuka ku 1.3trillion.
Minister era agamba ba kontulakita abakola oluguudo luno aba kampuni ya China Civil Engineering Construction Corporation (CCECC) baamutegezeza nga bwebeetaagayo obuwumbi obulala 700, nga kino kitegeeza oluguudo luno lwakuwementa trillion 2 ( shs 2 tn).
Byamukama agamba nti ensimbi ezo okulinya kivudde ku nsobi ezaakolebwa abakozi mu minisitule y’ebyentambula baagambye nti banoonyerezebwako.
Bisakiddwa: Nabageraka Edithie










