President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni abikidde eggwanga, munnamaggye era omubaka wa parliament owa Adjuman West munnakibiina ki NRM General Moses Ali afudde olwa leero nga 18 July,2026.
Moses Ali yali mumyuuka owokubiri owa Ssabaminister w’eggwanga okumala ebisanja ebiwera era nga president Museveni yamuwummuza ku kifo kino mu cabinent empya eya 2026 -2031.
Mwami Museveni mu bubaka bwe obubikira eggwanga , agambye nti General Moses Ali afiiridde mu ddwaliro e Nakasero gyabadde gy’amaze akaseera ng’ajjanjabibwa.
Agambye nti General Moses Ali aweerezza eggwanga lye obuteebalira okumala ebbanga mu biti ebiwerako, omuli okubeera munnamaggye saako okubeera munnabyabufuzi ate omukulembeze mu biti ebyenjawulo.
President Museveni agambye nti General Moses Ali abadde kyakulabirako kinene nnyo eri ensi, olweebyo byakoledde eggwanga mu buweereza bwe, nga mu kitundu kya West Nile, abadde mulimi ow’amaanyi era abadde kyakulabirako mu kitundu ekyo.
Museveni agambye nti government ye efiiriddwa nnyo era egenda kusubwa nnyo obuweereza bw’omugenzi General Moses Ali.
Amyuuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa agambye nti General Moses Ali abadde musomesa ate omuzadde omulungi, akutte ku banty bangi okubaako webatuuka mu byobufuzi, n’obukulembeze.
Agambye nti okumala emyezi omwenda ye Thomas Tayebwa gyeyali Nampala wa government, Moses Ali yamulera nnyo mu buweereza obwo n’okumulambika mu nkola y’emirimu.
Tayebwa agambye nti eggwanga ne parliament bigenda kusubwa nnyo obuweereza bw’omugenzi gwagambye nti atadde ettoffaali ddene nnyo ku ggwanga.
Ebyafaayo bya Gen. Moses Ali
Omugenzi General Moses Ali yazaalibwa nga 5 April, 1934 ku kyaalo Atabo mu district ye Adjuman.
General Moses Ali abadde munnamaggye omutendeke, era obutendeke buno okusinziira ku byafaayo, bungi yabufunira mu ggwanga lya Israel.
Yetaba mu kuvuunika government
ya Milton Obote eyasooka mu mwaka gwa 1971, yali musaale mukuleeta government ya Iddi Amin Ddada mu mwaka gwa 1971.
General Moses Ali mu government ya Field Martial Iddi Amin Ddada yalondebwanga minister w’ebyensimbi, era ebiwandiiko biraga nti yoomu ku baali abasajja abokulusegere ennyo aba Iddi Amin Ddada.
Bweyali minister w’ebyensimbi, General Moses Ali yafuna obuganzi obuva mu bannauganda ekyamuleetera ebizibu okuva eri mukamawe Field Martial Iddi Amin Daada, era yamufumuula kubwa minister nebitiibwa ebimu mu maggye banimuggyako.
Government ya Iddi Amin bweyavuunikibwa mu mwaka gwa 1979, General Moses Ali ne banne bwebaali bassa ekimu, baddukira mu ggwanga lya South Sudan mu kitundu kye Nimule okufuna obubuddamu.
Mu South Sudan eyo gyebaasinziira nebeekolamu ekibinja kyabayeekera ki Uganda National Rescue Front okulwanyisa government ya Milton Obote 2, eyali ekutte obuyinza.
General Moses Ali nekibinja kye ekyabayeekera ki Uganda National Rescue Front, baakekeza ennyago mu bitundu bya West Nile nga basinziira mu ggwanga lya South Sudan.
Ekibinja kino oluvanyuma kyakola omukago nabayeekera ba National Resistance Army abaali bakulemberwa Yoweri Kaguta Museveni abaali bakutte obuyinza bw’eggwanga lino, oluvanyuma lwolutalo lw’ekiyeekera olwaliwo wakati wa 1981 -1986.
Mu mukago guno ekibinja kya General Moses Ali ki Uganda National Rescue Front kyagattibwa mu magye g’eggwanga aga UPDF.
Okussa mu nkola omukago guno, mu mwaka gwa 1995 General Moses Ali yalondebwa ng’omumyuuka owokusatu owa Ssaabaminister w’eggwanga eyali avunaanyizibwa ku byobulambuzi n’ebisolo byomunsiko.
Mu mwaka wa 1996 General Moses Ali nga ye Mubaka wa parliament owa East Moyo, yalondebwa okubeera omumyuuka owokubiri owa Ssabaminister w’eggwanga era avunaanyizibwa ku by’obusuubuzi n’amakolero.
Mu mwaka gwa 2000, yalondebwa okubeera minister w’ensonga zomunda mu ggwanga.
Mu mwaka gwa 2016, General Moses Ali yalondebwa ku kifo ky’Omumyuuka asooka owa Ssaabminister era amyuuka akulira entambuza y’emirimu gya government mu parliament.
Mu mwaka 2021, yalondebwa nga omumyuuka owokubiri owa ssabaminister.
Omukulembeze w’eggwanga mu May,2026, bweyali alonda olukiiko lwaba minister ,yawummuza munnamaggye ono General Moses Ali eyali omukosefu, ekifo kyeyalimu nakironderamu Dr. Crispus Kiyonga nga omumyuuka owokubiri owa Ssaabaminister w’eggwanga.
President Museveni era yalonda mutabani wa General Moses Ali, nga ye Siraje Musa Ali ku kifo kya minister omubeezi ow’ebyentambula.
General Moses Ali anajjukirwa ebbanga lyonna lyamaze mu kifo kyomumyuuka wa ssabaminita, yoomu ku ba minisita abatono ababadde bajjumbira ennyo entuula za parliament okwanukula ku nsonga ababaka zebabuuza government.
Nga omuntu yenna bwasanga okusoomozebwa mu mirimu gyakola,General Moses Ali mu mwaka 2012 bweyali nga ye mumyuuka owokusatu owa Ssaabaminister w’eggwanga yeesanga mu kusoomozebwa, abakungubazi e Butalejja bwebaamufuumula nebamulemesa okuziika n’okussoma obubaka bwa government ,mu kuziika eyali omubaka omukyala owa district eyo Celina Nebanda
General Moses Ali abadde musajja wabigambo bitono.#













