Ministry yekikula kyabantu etaddewo ngennaku zomwezi 25 olwokusatu lwa sabiiti eno ngennaku zomwezi 27 olwokutaano, ngennaku ez’okuwandisizaako abakozi bakinoomu abatali mu bibiina byabakozi ebiwandiise ebimanyiddwa mu ggwanga, nga kino kikoleddwa okusobozesa abakozi bano nabo okweetaba mu kulonda kwababaka abakiikirira abakozi mu Parliament .
Uganda erimu emikago esatu egigatta ebibiina byabakozi ebiwandiise, okuli Central organisation of trade Union COFTU, National union of Trade Union NOTu saako Finance and Allied workers union
Coftu erimu ebibiina 10 songa Notu erimu ebibiina 33 songa Finance and Allied workers union erimu ekibiina kyabakozi 1.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry yekikula kyabantu Aggrey Kibenge asinzidde ku media center mu Kampala, naagamba nti mu mwaka 2015 bwaaliwo enkyuukakyuuka mu tteeka erifuga okulondebwa kwabakozi mu palament, abakozi abateegattira mu bibiina ebiwandiise nebakkirizibwa nabo okweetaba mu kulonda kwabakiise baabwe mu palament, kibadde kikakata ku ministry yekikula kyabantu okunoonya abakozi abo abateegattira mu bibiina biwandiise okubawandiika okufuna alijeesita yaabwe nabo basobole okwetaba mu kulonda.
Aggrey Kibenge agambye nti ngennaku zomwezi 25 ne 27 sabiiti eno ,ministry yekikula kyabantu egenda okuwandiisa abakozi bano ku magombolola ,town council’s ,ne munisipaali.
Aggrey Kibenge agambye nti ngennaku zomwezi 4 december abakozi abanaaba bawandiikidde bebajja okweerondamu abantu 10 bebanaasindiika ku districts okweerondamu era abakiise 10 mu buli region 4 ezikola eggwanga, okufanamu abakiise 40 abaneegatta ku bibiina byabakozi ebiwandiise okulonda ababaka ba paalament
Okusinziira ku Aggrey Kibenge ,abakozi bokka abagenda okuwandiikibwa bateekwa okuba nendaga muntu zeggwanga ,nga balina contract za kampuni zebakolera ,songa balonzi nga ku alijeesita yeggwanga eyabalonzi kwebali, naagamba nti abatalina ebyo ssi bakuwandiisibwa
Ministry yekikula kyabantu mubeera eno esabye ba Town clerk ,ba city clerk ,Ssenkulu wa KCCA neba COA okutwaaliza awamu okukola ku nteekateeka yokuwandiisa abakozi bano abateegattira mu bibiina byabakozi ebiri mu mikago okuki Coftu,Notu ,ne Finance and Allied workers union