
Ministry yeebyobulamu erangiridde abantu abalala 660 abazuliddwamu obulwadde bwa Covid 19 mu Uganda nga bano beebamu ku bantu e 5,064 abaakebereddwa gyebuvuddeko.
Ministry yeebyobulamu egamba nti omuwendo guno guleetedde abantu abaakazuulibwamu Covid 19 mu Uganda okulinya okutuuka kubantu kaakano 23,860.
Ayogerera ministry yeebyobulamu, Ainebyona Emmanuel, agamba nti akasattiro keeyongedde mu kibuga Kampala nga abantu abazuliddwamu obulwadde babadde (254), e Wakiso (92), e Kisoro (48), Sheema (47), Mbarara (33), Masaka (47), Buhweju (26), Lyantonde (18), Jinja (20), Kagadi (17), Rubirizi (10), Luwero (11), Moyo (6), Masindi, Hoima ne Buikwe (5), Gulu, Kazo, ne Kayunga (3), Kamuli, Bushenyi, Buyende, ne Kiruhura (2), Kakumiro, Buyende, Arua, Ngora ne, Nakaseke (1).
Abaakafa ekirwadde kino bakyali 207, ssonga anakajjanjabibwa nebawona beyongeddeko okutuuka kubantu 9,510 oluvanyuma lwokusiibula abalala 136 eggulo ate abakakeberebwa ekirwadde baweze emitwalo 65 mu 2,535.