Ministry yeebyobulamu erangiridde abantu 671 abazuliddwamu ekirwadde kya COVID 19 mu results ezifulumye mu kiro ekikesezza olwa leero ekiretedde omuwendo gwabantu abakazulibwamu Covid 19 mu Uganda sabiiti eno, okuweera 3,231.
Kaakano omuwendo gwabantu omugatte abaakazulibwamu obulwadde buno, batuuse ku 25,730, ssonga nabaakafa beweza 220 oluvanyuma lwokulangirira omulala akutuse ekirwadde kino nate.
Ministry yeebyobulamu egamba nti omuntu omu yekka yeyazulidwamu obulwadde okuva ebweru wa Uganda nga yabadde ayitidde kunsalo ye malaba okuva mu ggwanga lya Kenya, ssonga abalwadde 670 bbo basangiddwa wano munda mu ggwanga.
Wano mu Kampala abalwadde bazuddewo (288), Wakiso (103), Kabale (44), Lyantonde (38), Mbarara (37), Kalungu (28), Kyotera (18), Kanungu (13), Luwero (12), Jinja ne, Rukiga (9), Mbale (8), Butambala ne, Lwengo (7) nawalala.
Emmanuel Ainebyona, ayogerera ministry yeebyobulamu agamba nti abantu abalala 95 basiibuddwa nga abakasiibulwa mu ggwanga kati baweze 9,605 ssonga omuwendo ogwakakeberebwa guweze emitwalo 66, mu 6,328 oluvanyuma lwokukebeza abalala 5,570 eggulo.