Ministry y’eby’enjigiriza eragidde obukiiko bwa district ezenjawulo obwateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19, okuwaayo alipoota zonna ezikwata ku ngeri amasomero agalina abayizi abali mu myaka egyakamalirizo gyegetegeseemu, obutasukka leero kisobozese okugateekerateekera obulungi.
Amasomero gasuubirwa okuddamu okuggulwawo olwokuna lwa sabiiti eno, oluvannyuma lwomukulembeze weggwanga okulagira amasomero naamatendekero okuddamu okukola emirimu nobutafiiriza bayizi mu myaka egyakamalirizo.
Kyokka newankubadde nga omukulembeze yakiriza amasomero okuggulawo, obuvunanyizibwa bwasigala eri ministry yeebyenjigiriza okusalawo, amasomero agatuukirizza ebisanyizo byókwerinda ekirwadde ki COVID 19.
Kati abakulu mu ministry yeebyenjigiriza bagamba nti abakulembeze ba district ezenjawulo nabalondoola eby’enjigiriza mu district ezo, bebakyalemeseza enteekateeka zonna okutambula obulungi nokuteekerateekera amasomero ago.
Dr Kedrace Turyagenda, akulira ebyokulondoola omutindo gwamasomero mu ministry yeebyenjigiriza era amyuka ssentebe waakakiiko akalwanyisa okusaasaana kwekirwadde kya Covid 19 mu ministry eno, agambye nti enteekateeka ya gavumenti okulangirira nokukakasa abo abatuukirizza ebisaanyizo, esuubirwa olunaku olwenkya ssinga alipoota ziba zuvuddeyo zonna olwaleero mu district ezitali zimu.
Kunsonga yaabaana okugabirwa Mask ebbiri gavumenti zeyeeyama okubagulira, Dr Turyagyenda, agambye nti abayizi bakugenda ku masomero ne mask zaabwe bazadde baabwe zebaabagulira, songa eza gavumenti buli muyizi wakuzisanga ku masomero.
Wabula Dr Turyagyenda bwabuziddwa ku bwetegefu bwokugabira abaana mask zino agambye nti ministry yeebyenjigiriza yamaze okuteekayo okusaba mu ministry yeebyobulamu kwa mask obukadde 2 neemitwalo 40 era balina esuubi nti zakubaweebwa zigabirwe abaana akakadde kamu nemitwalo 20 abasuubirwa okuda ku masomero.