Omusajja ow’emyaka 48 abadde omutuuze mu zooni ye Mukwanga mu town council ye Buwenge mu district ye Jinja, yeyafudde ng’alina obubonero obwefaananyiriza obwa Ebola.
Omusajja ono, yabadde atambula naatondoka naagwa era naafiirawo, mu kabuga ke Buwenge.
Abaduukirize bagenze okumutuukako ng’avaamu omusaayi mu bitundu ebyenjawulo okuli amaaso, ennyindo n’amatu era nebatya okumukwatako.
Abasawo okuva mu ddwaliro lya Buwenge Health Center IV, nga bakulembeddwmu Pauline Akiror, omugenzi baamujeeko sampolo z’omusaayi, okwongera okuzeekebejja era endala nebazisindika mu kkeberezo lya governmentbekkulu erya Uganda Virus Research Institute, [UVRI], erisangibwa Entebbe, okukakasa nokuzuula ekituufu ekyamusse.
Omulambo gwazingiddwa mu biveera ebiziikibwamu abafudde Ebola, era abenganda z’omugenzi abatasukka 30, bebakkiriziddwa okwetaba mu kuziika wakati mu kwewa amabanga mu nkola ya ttonsemberera.
Dr. Richard Kabanda kaminsona mu ministry y’ebyobulamu avunanyizibwa ku kusomesa abantu ku ndwadde enkambwe agambye nti tebanafuna alizaatisi zabyavudde mu musaayi, n’asaba abantu okuloopa bebalaba balina obubonero obwefaanaanyiriza obwa ebola.
Wabula n’ategeeza nti waliwo n’endwadde endala ezisobola okubeera n’obubonero obwo, ng’oggyeko ebola.
Kinajjukirwa nti ku nkomerero y’omwaka oguyise 2022, Ebola oweekika kya Ebola Sudan yazuulibwa mu district ye Mubende mu ggombolola ye Madudu, era kyaleka abantu abasoba mu 50 mu bbanga lya myezi 3 bafu, omwali naabasawo abaali bakijjanjaba.
Kyokka n’okutuusa kati abasawo abaakola ku lutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kino e Mubende, abamu nakati bakyabanja ssente zabwe ezeensako, era baawandiikidde omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulamu Dr. Diana Kanziira Atwine ne minister webyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, nga beewera okubatwala mu mbuga z’amateeka olw’obutabasasula obuwumbi obusoba mu 1,970.
Bisakiddwa: Ddungu Davis