Entambula esanyaladde ku luguudo oluva e Kakiri okuda e Bujuuko ku nsalo ya district ye Wakiso ne Mpigi, oluvanyuma lwómugga Mayanja okuwaguza negusalako ekkubo lyonna.
Ebidduka byonna okuli emmotoka ne pikipiki tezisobola kusala.
Kigambibwa nti waliwo nómuntu agudde mu mugga guno wabula bamwanguyidde nebamuggyayo ng’amazzi teganamukuluggusa, naddusibwa mu ddwaliro ng’embeera si nnungi#