Obwakabaka bwa Buganda bukeeredde mu kiyongobero olw’okuzaama kwa Namasole Margrete Siwoza.
Namasole Siwoza abadde maama wa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Y’abadde omusika wa Namasole Zirimbuga Musoke, eyali yasikira Namasole Sarah Kisosonkole eyazaama mu 1974 ng’ono yeyazaala Ssabasajja Kabaka.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde abikira Obuganda enkya ya leero, annyonyodde nti Obwanamasole butambulira mu musaayi.
Katikkiro ategeezezza nti Namasole Margrete Siwoza abadde amaze omwaka mulamba nga mulwadde oluvannyuma lw’okusannyalala oludda olumu olw’omubiri. Abadde ajanjabirwa mu ddwaliro e Mulago ne Aghakhan hospital Nairobi mu Kenya era ng’eno Ssabasajja Kabaka yagendayo n’amulambulako.
Wateereddwawo akakiiko akagenda okukwasaganya ensonga zonna ez’okutereka Namasole, kakukubirizibwa omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro Owek.Waggwa Nsibirwa,abalala ye mukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek.Patrick Luwagga Mugumbule,minister w’ennono n’obuwangwa Owek.David Kiwalabye Male,Omutaka Mugema Charles Nsejjere,Ssabaganzi Emmanuel Ssekitooleko ng’ono Kojja wa Kabaka, ne Dr.Daniel Muyanja mutabani w’omugenzi Namasole Siwoza.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti akakiiko kano kakukwasaganya ensonga zonna ezikwata ku nnono n’obuwangwa kasalewo ekiseera Namasole lwanaterekebwa.