Bannakyadondo n’okusingira ddala abavuzi ba Bodaboda bazze mu bungi ku lunaku olusoose olugguddewo okuggulawo enteekateeka y’okugaba omusaayi, ewomeddwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation ne bannamikago abalala.
Omulangira David Kintu Wassajja akuutidde abagoba ba Bodaboda mu ggwanga buligyo okugoberera ng’amateeka g’ebidduka nénkozesa yénguudo okutaasa obulamu.
Omulangira abadde akulembeddemu okugaba omusaayi ku gombolola ya Mutuba V Kawempe.
Omulangira agamba nti abagoba ba bodaboda betaaga okulungamizibwa obulungi nga bakola emirimu gyabwe okusinga okubagobaganyanga, era nábeebaza okwenyigira mukugaba omusaayi.
Okugaba omusaayi mu Kyaddondo kutandise leero kukomekkereza nga 23 January,2023.
Omukolo guno gwetabyeko Ssaabawolereza w’obwakabaka era minister avunanyizibwa ku government ez’ebitundu ng’atuula ku lukiiko olukulembeze olwa Kabaka Foundation Owek Christopher Bwanika.
Dr. Ahmad Bumba okuva mu kitongole ekya Uganda Blood Transfusion Services asuubizza nti ngékitongole bagenda kukola ekisoboka okulwanyisa abatunda omusaayi mu malwaliro.
Abavuzi ba Bodaboda olunaku lwa leero bebasinze okujjumbira entegeka eno, nga bakulembeddwamu Ssemuju Yasin omwogezi wa Boda mu Kampala Central nebakunga abakulira stage zonna, okulambika abavuzi ba bodaboda bonna okujjumbira enteekateeka eno.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation omukungu Edward Kaggwa Ndagala akubirizza banna Kampala okugaba omusaayi.
Olunaku olw’enkya olwa Tuesday okugaba omusaayi kuli mu gombolola okuli Mukulu wa Kibuga ne mu bifo 50 okuli ebyenjawulo okuli Kaguugube ,Kamwokya,Kafumbe Mukasa,Kabowa Lungujja ,Nateete nebitundu ebirala bingi.
Bisakiddwa: Nakato Janefer