Ekittavu kya Kyadondo CBS Pewosa Sacco kitongozza enkola egenda okusobozesa ba memba abatereka ensimbi mu ssako eno okutereka n’okwewola ensimbi nga beyambisa omutimbagano etuumidwa E-invest ne Micro Lending nga bakozesa essimu zabwe.
Buli memba wa Sacco eno waddembe okukozesa akasimu ka Mapeesa oba Smart Phone okusiga ensimbi ze okumala akiseera ekigere, nga zimuwa amagoba buli mwezi okusinziira ku muwendo gwazo.
Omumyuuka ow’okubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka Owek Robert Waggwa Nsimbirwa yatongozza enkola zino ku mukolo ogubadde ku Kenrone Hotel e Mengo.
Owek.Nsibirwa awabudde abantu ba Kabaka okukomya obunafu nebalemwa okusiga ensimbi nebadda mu kukuba emimiro, ekiviiriddeko abantu abalala okubayitako mu byenfuna.
Owek Nsibirwa era alagidde abantu okwenyigira mu katale ke nsimbi okusobola okuyiga engeri y’okukuumamu ensimbi n’okukomya okwejjalabya.
Ssentebe w’olukiiko olukulembera Kyadondo CBS Pewosa Sacco era nga ye ssenkulu wa Radio CBS omuk Micheal Kawooya Mwebe ategezezza bagala okulaba ng’abantu bonna bafuna omukisa ogw’okutereka ensimbi zabwe zebanaganyulwa mu bukadde.
Omukwanaganya w’ekitongole ekirondoola ensimbi ez’obukadde ekya Uganda Retirement Benefit regulatory Authority Hajji Hassan Nakabaale ategezezza nti enkola nga zino ziyamba ba member okuganyulwa mu nsimbi zaabwe zebatereka olwa magoba amangi gebafuna.
ssenkulu w’ekittavu kino Nansubuga Barbra ategezezza nti enkola eno yakweyambisibwa ba memba bonna abalina buli kika kya ssimu.
Bisakiddwa: Ssebuliba William