Police erumye n’ogw’engulu okuzikiza omuliro ogumaze esaawa eziwerako nga gwaka ku kizimbe kya City House mu kibuga Kampala.
Omuliro guno ogwatandise ng’essaawa zikunukkiriza okuwera esatu ezokumakya, zituuse mu saawa nga mukaaga ng’ekyalwana nagwo.
Abamu ku bakozi ku kizimbe kino bategezeza cbs nti omuliro guno gwandiba nga guvudde mu ffumbiro negubuna ekizimbe kyonna.
Meeya w’amasekati ga Kampala Salim Uhuru agambye nti emaali y’abantu wadde nga esanyeewo mu bungi,wabula police erwanye nga bwesobola okuguzikiza, okuwonya ekizimbe okugwamu.
Wabula Police ekyakiggadde okusooka okukakasiza ddala oba omuliro guweddemu, n’okuzuula ekituufu ekivuddeko omuliro.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif