Kyadaaki olukiiko lwa ba minister lulagidde ministry y’ebyensimbi okunoonya obuwumbi bwa shs 54 eziwe ministry y’eby’obulamu, okuwandiisa abasawo mu malwaliro abalindiridde okutandika okugezesebwa kwabwe.
Abasawo bano abaamala edda okutendekebwa mu masomero abamu bamaze ebbanga lya mwaka mulamba, abalala batuuse mu myezi 6, kyokka tebakirizibwanga kusaba mirimu mu malwaliro okukola, okutuusa nga bamazeko ekiseera ekyokugezesebwa.
Abasawo bano mu kibiina ekya Pre Medical Interns, bekalakaasizza enfunda eziwera wekalakaasa, era n’olwaleero police ekutte 9 nga bekalakaasa.
Balaga obutali bumativu olw’obutabawandiisa mu malwaliro, sso ng’era bawakanya nekyokuggyawo ensako ebadde ebaweebwa ey’obukadde 2 nekitundu buli mwezi, eri buli musawo agezesebwa.
Wabula ensonda zitegezezza Cbs nti olukiiko lwa ba minister lulagidde minister webyensimbi okufuuza ensawo y’eggwanika okulaba nti abasawo bano batandika okugezesebwa kwabwe.
Ensonda kyokka zitegezezza nti ekyabasawo bannabwe ababanja okumala emyezi ejikunukiriza mu 8 abamanyiddwa nga ba Senior House officer, abali mu keedimo kati wiiki 3 ne ba medical officer special grade, abaagala okubongeza omusaala okuva ku bukadde 6 okutuuka ku bukadde 11 nga nabo akeedimo bawezezza week nnamba, ensonga zabwe nti zzo zikyaliko kalumanywera.
Ministry y’eby’obulamu yagamba nti yeetaga obuwumbi bwa shs 54 okuwandiisa abasawo abagezesebwa, n’obuwumbi 21 okusasula abasawo enyongereza ku musaala ba medical officer special grade, ssonga ba senior house officer ezabwe sinambulukufu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis