Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde bannabyabufuzi abebulankanya ku nsonga z’Obwakabaka n’ebika mwebasibuka nebekweka mu bibiina by’obufuzi, nti bano bakikola mu bukyamu era abayise bakomewo ewaka.
Katikkiro abadde akwasibwa Obukadde bwa shs 20 okuva mu wofiisi ya ssentebe wa NRM e Kyambogo, okugula tiketi 2000 okuyingira mu mupiira gw’empaka z’ebika by’abaganda.
Ensimbi zireeteddwa Omuwabuzi wa president Hajat Hadija Namyalo, ku lwa wofiisi ya Ssentebe wa NRM eye Kyambogo, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro asabye abakulembeze mu bibiina by’obufuzi byonna era nga balina ebika mwebava obutekwekerera ntekateeka eno.
Katikkiro ategeezezza nti mu bimu ku biragiro Ssaabasajja byeyamuwa nga amukwasa ddamula, yamulagira okugatta abantu be awatali kwawula mu bibiina byabufuzi, yadde eddiini oba ebika mwebasibuka.
Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu,agambye nti ebyemizannyo mu Bwakabaka byongedde okutumbula Obumu,naasaba abavubuka bongere okuwagira entekateeka z’Obwakabaka
Empaka z’emipiira gy’Ebika by’Abaganda 2023 zigibwako akawuuwo nga 13 May,2023 e Wankulukuku.
ziwagiddwa Airtel Uganda, Uganda AIDS commission, BBS Terefayina, CBS fm n’abavujjirizi bangi, era nga okuyingira kwa shillings za Uganda 10000 ne 20000.
Bisakiddwa: Kato Denis