Bya Kato Denis
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye government nábantu ssekinoomu okulowooza ennyo ku biseera byomumaaso ebyábaana abawala naddala abaafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo ogwa Covid 19.
Katikkiro ayagala abaana bano baweebwe omukisa okudda mu masomero , nókukangavvula abaabatusaako ebizibu mwebatubidde.
Owek. Mayiga abadde asisinkanye abaddukanya ekitongole ki Raising Voices abakulembeddwamu ssenkulu waakyo Abigail Kajumba Freland mu Bulange e Mengo.
Agambye kiba kyabwenkanya okubudaabuda abaana abawala n’okubazza ku misomo mu kifo kyokubabonereza nebatafuna mukisa kuddamu kusoma.
Owek Mayiga era asabye okutuntuza abaana abato nébibonerezo ebikakali mu masomero náwaka kukomezebwe.
Agambye nti kino kiyambako mu nkuza yábaana abalina eddembe nékisa mu mitima n’okufaayo eri abalala.
Mungeri yeemu Katikkiro asabye abaami okukomya okutulugunya abakyala, nti okutulugunya abakyala kuzi𝝶amya enkulaakulana yéggwanga.
“Tulina okulowooza ku bannakazadde, ba nnakazadde bali mu kifo kya kumwanjo, era tewali kiremesa mukyala kubala bibala byetumusuubiramu. Abasajja bangi bayiikiriza abakazi kubanga babasinga amaanyi”.
Kyokka Katikkiro asabye ebitongole ebirwanirira eddembe ly’abakyala n’abaana obutasuulirira mwana mulenzi, nategeeza nti nabo eddembe lyabwe lityoboolebwa nnyo abakyala, ssonga nebwebaba batuuse ekiseera kyokufuna ababeezi tebalu𝝶amizibwa.
Hope Wambi ye mukwanaganya w’emirimu mu Raising Voices agambye nti baasazeewo okukolagana n’Obwakabaka bwa Buganda nga bayita mu mikutu gy’amawulire okuli Radio CBS ne BBS Terefayina, okusobozesa abazadde n’abakuza b’abaana okumanya eddembe ly’abaana.