Abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka baweereddwa amagezi okwenyigira mu buli ntekateeka y’Obwakabaka, okugoberera ennambika n’enkola y’emirimu , olwo baweereze Obwakabaka bulungi era mu bwesimbu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabadde asisinkanye abaweereza abakadde n’Okwanjulirwa abagya abaweerereza mu Bulange e Mengo, abawadde amagezi okubeera eky’okulabirako mu buli kyebakola.
Abasabye babeere bayiiya ku mirimu gyabwe, gibeere miyonjo, banyiikire bagikole n’okwagala n’obwerufu.
Abaweereza mungeri eyenjawulo abawadde amagezi okwongerayo n’emisomo bongere ku buyigirize bwebalina, kibasobozese okuvuganya ku mirimu emirala mu Bwakabaka n’ebweru wabwo.

Omuteesiteesi Omukulu mu Bwakabaka Omuk Josephine Nantege, yeebazizza abaweereza abatuuse ku buwanguzi obwenjawulo mu Bwakabaka , era naabasaba okumuwa obuwagizi bwabwe munzirukanya y’emirimu ku lw’Obwakabaka ne Ssabasajja.
Bisakiddwa: Kato Denis