Abalimi n’abalimisa okwetoloola Buganda baweereddwa amagezi okugabana ku bukugu bwebalina mu bulimi n’Obulunzi , kiyambeko Buganda ne Uganda eyaawamu okwongera ku bungi bw’emmere eriibwa n’etundibwa mu butale bw’amawanga agebweru.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga amagezi agabaweeredde mu ssaza Kyaggwe gy’asisinkanidde abalimi b’emmwanyi n’Okukomekkereza enteekateeka y’emmwanyi terimba ey’Omwaka guno 2021 ng’asinziira mu nnimiro y’Omulimisa mu Bwakabaka Philly Lubega ku Kyalo Ssaayi.
Katikkiro agambye nti Uganda tekyetaaga bantu bakukulira magezi gakikugu mu byebakola, okugyako okugagabana n’abalala nebakola ebintu eby’omutindo, nebabirima mu bungi,nebagaziya akatale kabyo ate buli omu nafunamu, nti y
Omulangira David Kintu Wassajja awadde amagezi abalina ettaka nga tebalikolerako bazuukuke nga obudde bukyali, kubanga Kati ettaka lyakulwanira, mungeri eyenjawulo naalabula abavubuka ku kwegayaaza okusukkiridde.
Minisita omubeezi ow’ebyettaka n’Obusuubuzi mu Bwakabaka Owek Haji Hamis Kakomo agumizza abantu ba Ssabasajja Kabaka obutaba nakutya kwonna ku bbeeyi y’emmwaanyi, gyagambye nti mu kiseera kino ebbeeyi y’emmwanyi yeyongedde okulinnya, n’alabula abalimi obuteetundako mmwanyi nga zikyali mbisi.
Atwaala essaza Kyaggwe Ssekiboobo Elijah Boogere, aloopedde katikkiro abamu ku bavubuka abataagala kukola nebadda mu kumala ebiseera, mu byemizannyo gyokka, so nga bandibadde bagyeyambisa kwewummuzaako sso ssi kugimalirako biseera.
Abalimi b’emmwaayi abalambuddwa omubadde Philly Lubega omulimisa mu Bwakabaka ,Nsubuga Obed ku kyaalo Bbanda Kyandaaza ne Christopher Nkengeero bagambye mu kukola kwabwe ennyo basobodde okwagazisa abalala okulima, era basuubira nti enkulaakulana y’abalimi banaabwe yaakwongera okutumbuka.
Abakulembeze ku mitendera egyenjawulo omubadde eyaliko omubaka wa Mukono south mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Muyanja Ssenyonga, omubaka aliyo mu kiseera kino Fred Kayondo wamu n’Omubaka wa president mu district Mukono Nabitaka Fatuma Ndisaba bawadde obweeyamo okukola buli kyebasobola okusitula embeera z’abantu.
Katikkiro awerekeddwaako Owek Mariam Mayanja Nkalubo, Owek Noah Kiyimba, Robert Musenze Mugenyi ssenkulu wa BUCADEF, ssentebe wa district ye Mukono Rev Peter Bakaluba Mukasa ,n’abakungu okuva mu kitongole ky’emwaanyi ki Uganda Coffee Development Authority.