Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu egikolebwa abalimi b’emmwaanyi mu Ssaza Buweekula, naabalagira obutaabulira nnimiro kubanga yakubakulaakulanya.
Mu bubaka Ssaabasajja bwatisse Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde agenze mu Ssaza Buweekula okutongoza Omwaka A ogw’emmwanyi 2024, Beene agambye nti Okulima Emmwaanyi kwakubbulula abantube mu bwavu, naddala abavubuka ababadde basuddewo ettaka nebaddukira mu bibuga.
Katikkiro mu kutongoza Omwaka A 2024 ogwa Mmwaanyi Terimba, atongozza ekyuuma ekikuba Emmwaanyi ekizimbiddwa bannakibiina ki Kitenga Agali Awamu coffee farmer’s cooperative mu Town council ye Kyenda.
Mungeri yeemu alambudde abalimi b’Emmwaanyi omubadde John Kayengere mu gombolola ye Kitenga ,n’Omuvubuka Brian Matovu Yiga omuyizi ku ttendekero wa Kyambogo.
Katikkiro awerekeddwako minister w’Abavubuka ebyemizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga,Minister w’Amawulire ,Okukunga era Omwoogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, minister w’olukiiko ne cabinentOwek.Noah Kiyimba, Omuk Charles Kironde kulwa BUCADEF,abakungu mu Uganda Coffee Development Authority n’Abantu abalala bangi.
Katikkiro ku lulwe agambye nti bukyanga nteekateeka ya Mwaanyi Terimba etandikawo mu Ssaza Buweekula, ensimbi ezivaamu zeyongeredde ddala, abalimi basasula Omusolo, naasaba government etuuse obuweereza Obulungi eri abantu baabuligyo.
Asabye abakulembeze babeere eky’okulabirako eri abantu bebakulembera nga bakola ebyo byebaagala abantu bakole.
“Omukulembeze omutuufu atuuka ku bantu, tatuula mu woofiisi mwokka” Katikkiro Mayiga
Katikkiro ategeezezza nti enkola ya Federo egya kuyamba abantu ba Buganda okukola ennyo bagobe obwavu Buganda edde ku ntikko.
Minister wa Ssaabasajja ow’Ebyobulimi,Obuvubi n’obweegassi Owek Haji Hamis Kakomo agumizza abantu ba Beene ku butale Obuteekeddwateekeddwa Obwakabaka, omuli aka Mwaanyi Terimba limited, era naabasaba obutaabulira bibiina bya bweegassi.
Ssentebe wa boodi ya BUCADEF Omuk Dr Ben Ssekamatte, ajjukizza abantu ba Beene okweewala okufuuyiza ebiragalalagala mu misiri gy’Emwaanyi ,basobole oluvuganya obulungi ku katale.
Omwaami wa Ssaabasajja akulembera essaza Buweekula Luweekula Immaculate Nantaayi Kafeero, agambye nti Banna Buweekula beyongedde Okulima Emwaanyi mu bungi, nga mu kiseera kino bawerera ddala 4000 abalina emisiri gy’emmwanyi egittuludde.
Umar Lule Mawiya omubaka wa President mu district ye Mubende, yeebazizza gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka olw’Enkolagana ennungi ne gavumenti ya wakati ,gyagambye nti esobozesezza enkulaakulana okubukala mu Bantu.
Bisakiddwa: Kato Denis