Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okulabika mu bantu mu nsi yonna olw’omutindo gw’enkola y’emirimu emiteeketeeke obulungi egiyamba okujuna abantu ba Ssaabasajja mu buweereza obutali bumu.
Ebitongole bya Buganda n’obukulembeze ku mitendera egy’enjawulo, kaakano bonna baweereza abantu ba Kabaka nga bagoberera ennambika ya Buganda eyafulumizibwa mu Nnamutaayiika ow’emyaka etaano anaatera okuggwako.
Bwabadde aggulawo Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda omuli ba minister, abaami b’amasaza ne bassenkulu b’ebitongole bya Buganda, omunaava Nnamutaayiika w’emyaka etaano egiddako, Katikkiro Charles Peter Mayiga ajjukiza abakulembeze okunyiikira okukola emirimu gyabwe nga bagoberera enkola “Ey’omulembe Omuggya” lwebanaatuusa obuweereza obusaanidde ku bantu ba Kabaka.
Olusirika luno luyindidde mu Butikkiro e Mengo.
Enkola Ey’omulembe omuggya yeesigamizibwa ku mpagi okuli; Obuyiiya, Obwerufu N’obunyiikivu n’ekiruubirirwa eky’okuzza Buganda ku Ntikko.
“Omuyiiya taba na byekwaso, Omuntu atamanyi mirimu lubeerera abaako gweyeekwasa okumulemesa”.
Mu bukulembeze bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, yagunjaawo enkola ey’okuteekateeka emirimu mu kyeyatuuma “Nnamutaayiika” nga mwemubeera ennambika egobererwa mu nkola y’emirimu mu Buganda buli luvannyuma lwa myaka etaano.
Kaakano Obwakabaka bwakatambula ne Nnamutaayiika wa mirundi ebiri, ng’eyasookera ddala yatandika mu 2014-2018.
Eyaddako era agenda okugwako yatandika mu 2018 – 2023, era ng’ebimu ku Ebimu ku bituukiddwako mu Nnamutaayiika agenda okuggwako nga 30 June 2023, kuliko;
• Ssaabasajja Kabaka yeeyongedde okufuna ettutumu mu Buganda, Uganda n’ebweru, Eggwanika lyongedde okuwanirira Nkuluze mu mirimu egikwata obutereevu ku Ssaabasajja n’abantu be era wamu n’okulabirira embiri.
• Okunyweza ebifo by’obwami obw’ennono nga Nnamasole, Ssaabaganzi, Ssaabalangira, Nnamuyonjo n’ebirala.
• Okutongoza ekibiina ky’aboogezi/ Abaluŋŋamya b’emikolo.
• Okuddaabiriza Emmotoka eyali eya Ssekabaka Muteesa II (Rolls-Royce)
• Okufunira ba Jjajja Abataka entambula
• Ekisaakaate kya Maama Nnaabagereka ku nsonga z’Obuntubulamu n’ebirala.
Olusirika luno lwakumala ennaku bbiri nga luyindira mu Butikkiro e Mmengo mu maka ga Katikkiro amatongole (Ag’obwakatikkiro).
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.