Ekitongole kyÓbwakabaka eky’ettaka ki Buganda Land Board (BLB)kiragiddwa okulondoola ettaka lyÓbwakabaka nÓkulinunula wonna weriri live mu mikono emikyamu.
Ettaka lino kuliko ery’ennono, ebibira ne mailo 9000.
Bwabadde atongoza olukiiko olufuzi olwa Boodi ya Buganda Land Board mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Buganda erina ettaka lingi eriri mu mikono emikyamu, kko nébibira ebyasaanyizibwaawo bannakigwanyizi.
Owomumbuga asabye abaweereza mu BLB obutakolera wansi wa mmeeza nga bakukuta, nti wabula bakulembeze obwesimbu mu mirimu gyabwe
Katikkiro anokoddeyo Egimu ku mirimu emirungi egikoleddwa board enkadde ebadde ekulemberwa Owek Martin Seremba Kasekende, okuli okuzimba ekizimbe kya Muganzirwazza, n’okusaawo enkola egobelerwa okukulakulanya ettaka ly’obwakabaka enkola eya KYAPA MU NGALO nebirala bingi ebifudde Buganda Landboard okuba ekimu ku bitongole ebisinga okukola obulungi mu nsonga z’ettaka.
Minister wÉttaka nÉbizimbe mu Bwakabaka Owek David FK Mpanga , yebazizza Maasomooji Ssaabasajja olwokusiima naamuwa obuvunaanyizibwa, era neyeeyama okukwasizaako Buganda Land Board okwongera okuweereza obulungi.
Ssentebe wa Boodi Omuwummuze Owek Martin Sseremba Kasekende, yebazizza Maasomooji Ssaabasajja olwokumuwa omukisa okuweereza ku lukiiko luno, kyokka nagamba nti tagenda kukoowa kumuweereza.
Ssentebe wa Boodi omugya ye Omuk Francis Kamulegeya, awadde obweeyamo nti waakukola butaweera okukuuma byonna ebituukiddwako, nÓkwongera okukulaakulanya ekitongole ng’ayita mu kwebuuza.
Ba memba ba boodi eno abalala kuliko, Robert Kigundu, Mariam Nansubuga, Rehma Naiga, Ritah Namyaalo Waggwa, Paul Kavuma, Omutaka Namugera Kakeeto, Alex Nyombi, Ayub Kasujja, John Kitenda, ne omukungu Simon Kaboggoza.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred ne Kato Denis