Katikkiro Charles Mayiga ayagala abakyala n’abavubuka bettanire okulima emmwanyi mu bungi, bagobe obwavu.
Katikkiro Mayiga abadde atongoza abakulembeze b’olukiiko lwa Buganda Cooperative Development Agency ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mmengo.
Joseph William Kitandwe alondeddwa okubeera ssenkulu w’olukiiko luno, ate Dr. Ben Sembajjwe ye mumyunka we.
Olukiiko luno lwanjuddwa minister omubeezi owebyobulimi, obusuubuzi, n’obwegassi Hamis Kakomo.
Lwakuvunaanyizibwa ku kulungamya n’okulondoola enkola y’emirimu gy’ebibiina ebyobwegasi ebya SACCO, Katikkiro bye yatongoza mu bwakabaka, okutambulira ku mateeka n’okutuukiriza ebigendererwa byabyo munjeri y’obwerufu n’okutumbula omutindo.
Katikkiro asabye abakulembeze b’ekibiina kino okukwasiza awamu bayamba abantu ba Buganda okukulakulanya ebibiina byabwe eby’obwegassi naddala mu kawefube w’okutumbula mmwanyi terimba.
Mu kiseera kino ebibiina by’obwegassi ebisoba mu 3000 byebyakawandiisibwa, wabula ebibiina 40 byokka byebiri ku mutindo ogusaanidde, ekiraga nti ekibiina kirina omulimu gw’amaanyi okuteeka ebibiina byonna ku mutindo ogusaanidde.
Bisakiddwa: Naluyange Kerren