Katikkiro Charles Peter Mayiga, asisinkanye atwala Rotary Club y’e Bellevue, mu kibuga Seattle ekya Amerika Thomas A. Leonidas okulaba engeri Obwakabaka gye buyinza okubangawo enkolagana eyeesigamiziddwa ku kukuuma n’okutaasa obutondebwensi.
Enteekateeka eno yategekeddwa Omuk. Sam Seruwu era assuubirwa okugikwanaganya okutuuka ng’egguse.
Katikkiro era sisinkanye ababaka ba Kabaka ab’ebweru wa Buganda abaggya, n’abamyuka baabwe, n’abawummudde. .
Ensisinkano ebadde ku Hyatt Regency Hotel, e Seattle, mu Amerika.
Ajjukiza abakulembeze nti obukulembeze buba buvunaanyizibwa bwakutema mpenda ezivvuunuka ebizibu, so si kubirombojja.
Abaami ba Kabaka ab’amasaza agenjawulo mu America ne Canada, oluvannyuma bawadde obweyamo okuweereza Ssaabasajja Kabaka.
Oluvannyuma Katikkiro aggaddewo olukungaana luno olwa Buganda Bumu North American Convention olumaze ennaku 3 nga luyindira mu kibuga Seattle.
Omulangira David Kintu Wasajja naye yetabye mu lukungaana luno.
Katikkiro alambudde n’ebimu ku bifo eby’enjawulo mu kibuga Seattle, abadde ne ba minister owek Joseph Kawuki, Owek. Noah Kiyimba, Owek. Mariam Mayanja, n’abakulira ebitongole okuli ssenkulu wa CBS omuk. Michael Kawooya Mwebe, owa Buganda Land Board Omuk. Simon Kaboggoza n’owa Kabaka Foundation Omuk. Kaggwa Ndagala.#