Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebika mu Buganda okusoosowaza abavubuka mu bifo by’obukulembeze, ng’omu ku kaweefube w’okuzuula n’okuzimba abakulembeze abalimu ensa.
Katikkiro asisinkanye abavubuka okuva mu kika ky’Omutima Omuyanja omukolo gubadde mu Butikkiro e Mengo.
okunyanjulira enteekateeka zaabwe ez’okwekulaakulanya n’okukola emirimu gy’Ekika.
Bamwanjulidde enteekateeka z’ekika kyabwe, n’abalagira okwetaba mu nkiiko z’Ekika ku mitendera gyonna.
Katikkiro abawadde amagezi ag’okwewala okwekubagiza, okubeera abayiiya era abeesimbu n’okwettanira emirimu gy’enkulaakulana n’obukulembeze.
Katikkiro agamnbye nti abavubuka basaanye okubeera mu bukulembeze obulungi nga bakyaali bato, kiwe eggwanga omusingi gw’enkulaakulana omugumu, nga balina kutandikira mu bika.
Katikkiro mungeri yeemu asabye abavubuka mu Kika ky’Omutima Omuyanja okukolerera Obukadde bwabwe nga bakyaali bato,okumanya ennono n’Obuwangwa , ate n’Okwagazisa abaana Obwakabaka.
Minister w’Amawulire okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, asabye abavubuka okubeera n’Omutima ogwaagaliza, n’okukolera awamu okwekulaakulanya.
Ssentebe w’abavubuka mu kika ky’Omutima Omuyanja Ssaalongo Ssenkasi Robert Kakeeto , asabye abavubuka mu Bika bya Buganda ne mu Bukulembeze b’Obwakabaka okukolera awamu okumalawo ebibasomooza, omuli ebbula ly’emirimu, okwettanira okusoma , n’Okunyweeza Obwerufu.
Bisakiddwa: Kato Denis