Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Ababiito be Kooki okufuba okunyweza obumu, kiyambeko mu kulwanyisa amalindirizi agaagala okubaawula n’Obwakabaka bwa Buganda.
Katikkiro abasisinkanye mu mbuga ya Buganda enkulu Bulange e Mengo.
Asisinkanye Ababiito n’Ababiitokati abavudde mu nnyumba ezenjawulo, n’abategeeza nti okubaawo kwa Kooki okukolera awamu n’obwakabaka, kwaviira ddala ku mikago egyattibwa ba jjajjaffe ne ba Ssekabaka.
Katikkiro Mayiga alabudde Ababiito n’abantu ba Kabaka bonna mu Ssaza Kooki, obutawa biseera bannakigwanyizi abasekeeterera Buganda, naabasaba amaanyi bagasse mu kwenyigira mu nkulaakulana yabwe n’Obwakabaka.
Ababiito okuli Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule ne Enock Lwabulanga beeyamye okutumbula Obumu mu bantu ba Kabaka, mungeri eyenjawulo nebasaba bayambibweeko mu kutumbula Obuweereza okuli ebyenjigiriza , enkulaakulana n’ebyobulamu.
Bisakiddwa: Kato Denis