Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Ssaabasajja Kabaka abaakalondebwa mu bukulembeze ku mitendera gyonna, okubeera abakozi ennyo n’okugoberera ennambika zÓbwakabaka .
Asisinkanye abaami b’amasaza n’abamyuka baabwe mu Bulange e Mengo.
Katikkiro era atenderezza abaami Ssaabasajja beyasiimye bawummule, olwéttoffaali lyebatadde ku nkulaakulana yÓbwakabaka.
Katikkiro mungeri yeemu alambise abaami ba Ssaabasajja wamu n’abamyuuka baabwe ku nzirukanya yémirimu era, abaagalizza obuweereza obwébibala.
Abasibiridde entanda ey’okutambuliza obuweereza bwabwe mu buwufu bwa Ssaabasajja Kabaka, ku Nnamutaayiika w’Obwakabaka omuva ensonga Ssemasonga 5 ezirambika obuweereza bwabwe, n’enkola ey’omulembe omuggya.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, oluvannyuma asisinkanye abaami bano n’abalambika ku ngeri gyebalina okutambuzaamu obuweereza bwabwe era baweereddwa n’ebiwandiiko byabanaagoberera nga baddukanya emirimu gyabwe.
Katikkiro akubirizza Abaami b’Amasaza n’abamyuka baabwe abaggya okukola emirimu nga batambulira mu buufu bwa Ssaabasajja Kabaka.
Minister wa government ez’ebitundu era nga yavunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka ebweru owek. Joseph Kawuki, yeeyamye okukwasizaako abaami ba Ssaabasajja okumanyisibwa enkola yémirimu ennungamu.
Abamu ku baami Ssaabasajja Kabaka beyasiimye naawa Obwaami beyanzizza Empologoma, era beeyamye okuweereza nga tebatiiririra Bwakabaka.