Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakyala ba Buganda okweggyamu obwa ngalo bunani, bongere okukola bekulakulanye ate n’okukwatirako abaami babwe okuyimirizawo amaka.
Katikkiro asisinkanyemu abakulembeze ba bakyala abafumbo abakulisitaayo aba Mothers’ Union, okuva mu bulabirizi bwe Namirembe, abakiise embuga.
Katikkiro agambye nti obunafu mu bakyala ensangi zino era bwe businze n’okuvirako emirerembe mu maka negatuuka n’okusattulukuka.
Katikkiro era asinzidde wano nasaaba abaami ba kabaka ku mitendera egyenjawulo n’abazadde mu maka gabwe, okuddamu okunyikiza enkola y’abantu okuwasa n’okufumbirwa nga bakyali bato, kuba kkubo ddene nnyo obwakabaka bwe lyesigamyeko okudda kuntiko.
Dr Prosperous Nankindu Kavuma minister wa bakyala, abuulidde Katikkiro nti Buganda eri mu kusoomozebwa okutabangawo, olw’omuwendo gw’abakyala ogw’eyongera buli lukya abatali bafumbo.
President wa Mothers Union, Nalongo Roselyn Bingi Kawiso,asabye obwakabaka okwongera okusembereza abakyala ensisira z’ebyobulamu eyo mu byalo gyebawangalira,okubajanjaba endwadde ezikosa ennyo abakyala.
Abakulembeze ba mothers’ Union baguze emijoozi 50 egy’emisinde gy’amazaalibwa g’omutanda egy’omwaka guno, egy’okuberawo nga 3 july,2022 mu Lubiri e Mengo.