Joshua Musaasizi Nsubuga asoma amawulire ku CBS FM ne BBS telefayina eyaffe agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne mwana munne Eliva Kiwumulo Oligye.
Bagattiddwa mu Kanisa ya Seventh day Adventist church e Najjanankumbi.
Katikiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe Obumusomeddwa Minister w’amawulire era omwogezi w’obwakabaka owekitiibwa Noah Kiyimba awadde abafumbo amagezu okukozesa obulungi emikutu emitimbagaano okwewala enjawukana eziva kunkozesa y’emitimbagaano embi.
Kàamalabyona asabye abafumbo okwegendereza emikutu omuli Facebook, WhatsApp n’emirala nti kubanga biviriddeko amaka mangi okusasika, olw’abantu okumalira okwo obudde obungi nebatafa ku bagalwa babwe.
Mungeri yemu owomumbuga ajjukiza abantu bonna okukuuma obuntubulamu mu kiseera kino nga abantu ensonyi bazinaaba mu maaso.
Kulwa Radio ya CBS omuk.Godfrey Male Busuulwa yabazizza Omugole Joshua Musasizi olwokubeera nempisa era omuwulirize eri bakamaabe ,era amusabye okukuza abaana obulungi.
Embaga Eno yetabidwako abagenyi abalala bangi, okuli Owek. Henry ssekabembe Kiberu ,Owek. Kayima Gabriel Kabonge ,Brig Gen Christopher Ddamulira, banamawulire, abakadde be Kanisa, omubaka wa Nakaseke Allan Mayanja n’omubaka omukyala owe Kalangala, eyali mayor w’ eNtebe Kabuye n’abalala bangi embaga eno bagyetabyeko.
Omuyimbi era munamateeka Silver Kyagulanyi ne Quitent band bebasanyusizza abagenzi ku kijjulo kyabagabudde ku Peniel beach Hotel Entebe.
Omugole Joshua Musaasizi Nsubuga ne munne Eliva Kiwumulo bebazizanyo abantu ababayambye okutuuka ku kkula lino.
Omukolo guno gwetabyeko abakozi ba CBS ne BBS abakola ne Joshau Musaasizi Nsubuga.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius