Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulira ebitongole byonna eby’obwakabaka okusitula empeereza y’emirimu n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Obwakabaka.
Bino Katikkiro abibagambidde mu nsisinkano eyenjawulo ebadde mu Bulange e Mengo, eyetabiddwamu ba ssentebe ba boodi n’abamyuka babwe saako ba ssenkulu b’ebitongole byonna.
Ensisinkano eno eendereddwamu okujjukiza abaweereza ku madaala agaawaggulu obuvunaanyizibwa bwabwe eri Obwakabaka.
Katikkiro asabye abakulembeze bano bakole ekisoboka, okutuukiriza obweyamo bwémitemwa gyabwe eri ensawo yÓbwakabaka, n’okulaba nga ensimbi zino zisasulwa mu budde.
Katikkiro mungeri yeemu asabye bassenkulu wamu nabamyuka baabwe mu bitongole byonna okufuba okukuuma ekifaananyi kya Ssaabasajja Kabaka, nga beeyisa mu nneeyisa egwaanidde.
Mungeri yeemu Katikkiro asabye abakulembeze mu bitongole byÓbwakabaka okufuba okulaba nga abaweereza bakolera mu mbeera ennungi, kyanguye enkola yémirimu mu bitongole byebakulembera.
Abasabye okubeera abayiiya mu mbeera y’ebyenfuna etagala, ebitongole bye bakulira bireme kuyuuga, ate nga basasula n’emisolo gyonna.
Bisakiddwa: Kato Denis