Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulira kkampuni enkozi ya kaawa, eya Cascade Coffee e Seattle mu Amerika, mu kaweefube ow’okufuna bannamikago, abakwasizaako Obwakabaka ku nteekaterka ya mmwanyi terimba.
Katikkiro abadde ne Baminister n’ababaka ba Kabaka ow’e Seattle n’e Bungereza, n’abamu ku bakulira ebitongole bya Buganda.
Baaniriziddwa akulira kkampuni ya Cascade Coffee Greg Thayer abalambuzza emirimu egy’enjawulo gye bakola.
Asiimye ebikolebwa n’agamba nti okubangawo enkolagana wakati kkampuni eno n’Obwakabaka, gujja kuba mukisa munene nnyo eri Buganda ne Uganda okutwalira awamu ogw’okutumbula ekirime ky’emmwanyi.
Greg Thayer, ku lwa Cascade Coffee, assuubizza okukolagana n’Obwakabaka okutumbula ekirime ky’emmwanyi.