Bya Kato Denis
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Enyumba ya Muzibwazaalampanga wetuuse kati eyolesa bulungi Obugunjufu nóbukugu bwÓmuganda bwalina mu kukola ebintu ebyenjawulo.
Yebazizza abantu ba Ssabasajja Kabaka abakoze obutaweera okumenyawo endowooza enkyamu eyábazungu, egamba nti abaddugavu tebeesobola.
Bino Katikkiro abyogedde alambula ennyumba ya Muzibwazaalampanga esangibwa mu masiro ga Bassekabaka e Kasubi.
Agambye nti ennyumba eno nkulu nnyo mu Bwakabaka, nti era yakuyamba mu kuzzaawo empisa zábaganda nénnono mu bavubuka ab’omulembe Omutebi.
Katikkiro Mayiga agamba nti “Muzibwazaalampanga ayolesa obugunjufu obulimu nóbukugu,era eggyayo ekifaannayi ekituufu ku bajjaja ffe”.
Annyonyodde nti kyakuyiga kinene nnyo eri emigigi emito, egirowooza nti e Bulaaya yewali ennyumba n’ebizimbe ebyewunyiisa.
Awadde ekyókulabirako nti ekizimbe ekiwanvu ennyo ekiri e Dubai (Burj Khalifa kirina fuuti 2,717) kyangu nnyo okuzimba okusinga ennyumba Muzibwazaalampanga.
Buli kintu ekissibwa ku muzibwazaalampanga kirina ennono nóbuwangwa obulina okugobererwa.
Ebimu ku bintu ebikozeseddwa okugizimba, kuliko embugo,emmuli, obukeedo, essubi,empagi Sserugattika eyassibwa wakati era ewaniridde akasolya kénnyumba eno nébirala.
Owek Mayiga agambye nti Omulimu gwÓkuzzaawo enyumba Muzibwazaalampanga gutambulidde mu nkola egoberera obuwangwa nénnono , neyeebaza olukiiko olwokuntikko olugazzaawo olukulemberwa Owek Haji Kaddu Kiberu, minister wébyobuwangwa , ennono, amasiro nébyokwerinda Owek David Kiwalabye Male, ne Awabulaakayole, olwengeri ennungi gyebagukuttemu omulimu guno.
Ennyumba ya Muzibwazaalampanga esangibwa mu masiro gé Kasubi yakwata omuliro nga 16 march,2010. Era okuva olwo Obwakabaka bwa Buganda bwatandikirawo okugizzaawo nga bugoberera ennono nóbuwangwa.
Mu nnyumba eno mwemugalamidde enjole zaba ssekabaka okuli Muteesa I yafa mu 1884.
Mwanga II yafa mu 1903.
Daudi Chwa II yafa 1939.
Sir Edward Muteesa II yafa mu 1969
Amasiro gé Kasubi ge gamu ku masiro 31 omugalamizidde ba ssekabaka ba Buganda bonna.