Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambula balimi b’emmwanyi mu ssaza Busujju mu nteekateeka eya mmwanyi terimba,n’okwongera okubazzaamu essuubi obutaddiriza mu mirimu gyebakola.
Katikkiro okulambula kuno akutandikidde mu maka ga Hajji Hassan Ssebaggala ku kyalo Ngandwe mu gombolola ya Ssabawaali Butayunja
YebazizzaHajji Hassan Ssebaggala olw’ekifananyi ekirungi eky’obulimi n’okukola ennyo kyawadde eri banaBusujju.
Katikkiro abasabye okukulembeza abaana abato mu mirimu gye bakola, nti kuba lye suubi lya Buganda ery’omumaaso.
Minister omubeezi ow’ebyobulimi, Hajji Hamis Kakomo, yebazizaza Hajji Hassan Ssebaggala olw’okuluma emwaanyi nebirala nga batambulira mu bwegassi.
Hajji Hassan Ssebaggala abulidde katikkiro nti omulimu gw’okulima gumwanguyidde nnyo olw’okukolera awamu ne balimi banne mu kibiina kya Bwavu Mpologoma.
Katikkiro mu kusooka atukidde ku mbuga y’essaza Busujju naalambula emmerezo y’emmwanyi, n’okuggulawo ekimu ku bizimbe ebiteereddwa ku mbuga eno okukoleramu emirimu gy’essaza, n’alambula n’abalimi b’emmwanyi abalala.
Katikkiro alambudde n’omwoleso gw’obulimi, obulunzi, obutale n’obwegassi ku mbuga ye gombolola Maanyi ate n’okuguggalawo.
Gubadde ku mulamwa ogugamba nti obugagga buli mu bulimi nóbwegassi.