Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza ababaka mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu abasimbidde ekkuuli entekateeka ya government eyokugatta ekitongole ky’emmwaanyi ku ministry y’ebyobulimi.
Owomumbuga abadde alambula abalimi b’Emmwaanyi mu Ssaza Butambala agambye nti ekitongole ky’Emwaanyi ki Uganda coffee Development Authority kirina omulimu munene okubbulula ekirime ky’Emmwaanyi,naasaba ababaka obutakoowa kulwanirira bannansi ku nsonga ez’enkizo.
Mungeri yeemu Katikkiro asabye abantu ba Kabaka okugatta Okulima emmere ku mmwaanyi ,ng’ekimu ku biragiro bya Ssaabasajja okubeera n’Abantu abalamu Obulungi era abagasa eggwanga.
Minister wa Ssaabasajja ow’Ebyobulimi, Obuvubi n’Obwegassi Owek Haji Hamis Kakomo, agambye abantu ba Kabaka abongedde okusituka mu byenfuna, naagumya abalimi b’Emmwaanyi ku bbeeyi etandise okubawa essuubi.
Omwaami wa Ssaabasajja Kabaka akulembera essaza Butambala Haji Sulaiman Magala, asabye Bannabutambala okukyuusa mu nkola banyweeze Emmwaanyi, nga bwebagattako ebirime ebirala.
Ssentebe w’akabondo k’Ababaka ba parliament abava mu Buganda Muhammad Muwanga Kivumbi ,asuubizza nti waakusigala ng’alwaanirira ebigendererwa by’Obwakabaka nga atambulira wamu ne banne.
Minister w’Olukiiko, kabinentu n’ensonga ezenjawulo mu yafeesi ya Katikkiro Owek Noah Kiyimba,asabye abantu ba Kabaka obutava ku bibiina bya bweegassi,wamu n’Okuteeka ekibalo mu byebalima.
Katikkiro alambudde abalimi omubadde Winfred Namyalo Ssempijja ku kyalo Kajjoolo, Ssentongo John abeegassi mu bibiina okuli Alinyiikira Women’s group Kajjoolo, ne Butambala Ssaza farmers group.
Mu ngeri yeemu Katikkiro asiimye bannabutambala abakungaanidde ku kisaawe e Gombe nebabaaniriza mu bungi.
Bisakiddwa: Kato Denis